Psalms 89

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

1 aNnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 bDdala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 c“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

5 dEggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 eKale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 fKatonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 gAyi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 hGgwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 iLakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 jEggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 kWatonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14 lObutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 mBalina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 nBanaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 oKubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 pDdala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

19Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 qNalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 rNnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 sTewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 tAbalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 uObwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 vAlifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.
Ennyanja eyogerwako wano ye ya Meditereniyaani, n’emigga gya Fulaati n’amatabi gaayo. Eyo ye yali ensalo ey’ensi eyasuubizibwa Dawudi ne Sulemaani.

26 xAnankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 yNdimufuula omwana wange omubereberye,
era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 zOkwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 aaEzzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
ne batagoberera biragiro byange;
31bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
ne batagondera mateeka gange,
32 abndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 acNaye ssirirekayo kumwagala,
wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 adSigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

38 aeNaye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
omukyaye era omunyiigidde.
39 afEndagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 agWamenyaamenya bbugwe we yenna,
n’oggyawo n’ebigo bye.
41 ahAbatambuze baanyaga ebintu bye;
n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 aiWayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
n’osanyusa abalabe be bonna.
43 ajWakyusa ekitala kye
n’otomuyamba mu lutalo.
44Ekitiibwa kye wakikomya;
entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 akEnnaku z’obuvuka bwe wazisalako,
n’omuswaza.
46 alAyi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 amJjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 anMuntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
n’awangula amaanyi g’emagombe?
49Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 aoAyi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 apabalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.


52 aq Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!
Copyright information for LugEEEE